Job 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'onooba omutukuvu, omutuufu, amangu ago ajja kukulabirira, ekisulo kyo ajja kukizzaawo nga bwe kikugwanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’onooba omulongoofu era ow’amazima, ddala ddala anaakuddiramu n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oba omulongoofu era owa mazima, Taaleme kusituka n'akuyamba, N'addamu okuwa amakaago omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era bw'onooba omulongoofu era omwesimbu, taaleme kusituka n'akuyamba, n'akuddizaawo amaka go agakusaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.