Job 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze ani nange amwesimbamu, nnaalondoba ntya ebigambo eby'okwogera naye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Nnyinza okufuna ebigambo okuwoza naye?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nnyinza ntya okuzuula ebigambo eby'okuwoza naye nga neetaasa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?