Job 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe nandimuyise n'ayitaba, sikkiriza nti yandimpulirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bwe nandimukoowodde naye n'anziramu, Sandikkiriza nti awulidde eddoboozi lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe nandimuyise okujja okuwoza n'akkiriza, sandikkirizza nti awulidde kye ŋŋamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.