Job 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi bw'egwa mu mikono gy'ababi, abalamuzi baayo abasiba kantuntunu. Oba si ye, kale ye ani oyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi. Abikka ku maaso g’abagiramula. Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si Katonda, kale ani?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi. Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo. Oba si Katonda, kale ani?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi: Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?