Job 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'alyagala okuwerennemba naye, talisobola kumwanukula n'ogumu ku mirundi olukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda bwamubuuza ebibuuzo olukumi (1,000), Tayinza kumuddamu kigambo na kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda ayinza okubuuza ebibuuzo olukumi, omuntu n'atayinza kumuddamu na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.