Joel 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro zisigadde matongo; ettaka likaaba kubanga eŋŋano ezikiridde, evviini ensu tekyali, n'omuzigo gukeeye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennimiro ziweddemu ebirime; ettaka likaze, Emmere ey’empeke eweddewo, omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennimiro zizise, ensi ewuubaadde; kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, omwenge omusu guweddewo, n'amafuta gaweddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennimiro zizise, ensi ewuubadde, kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, emizabbibu gikaze, n'emiti emizayiti giwotose.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera.