Joel 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emizabbibu gikaze n'oliva ziwotose; enkomamawanga, enkindu n'amapeera; emiti gyonna mu nnimiro gikaze, ddala essanyu likomye mu baana b'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzabbibu gukaze n’omutiini guyongobedde. Omukomamawanga, n’olukindu ne apo n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose. Abantu tebakyalina ssanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera, omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro giwotose; era n'essanyu lya baana b'abantu liweddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emizabbibu giwotose, emitiini giyongobedde, omukomamawanga n'olukindu n'emiti emirala gyonna egy'ebibala, gikaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu.