Joel 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulangirire ekisiibo ekitukuvu, muyite olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, mukunge abakadde, na bonna abasula mu nsi, mubakuŋŋaanyize mu nnyumba y'Omukama, mulaajanire Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulangirire okusiiba okutukuvu n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze n’abantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe, era mumukaabire Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulangirire okusiiba, muyite olukuŋŋaana. Mukuŋŋaanye abakulembeze n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya. Bajje mu Ssinzizo lya Mukama, Katonda wammwe, mumukaabirire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama.