Joel 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitalo eky'olunaku olwo! Kubanga olunaku lw'Omukama luli kumpi; lulijja ng'okuzikirira okuva eri Ow'obuyinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zitusanze olw’olunaku luli! Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde. Lulijja, ng’okuzikiriza okuva eri Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zitusanze olw'olunaku! Kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. Lwe lunaku lwa Mukama, Omuyinzawaabyonna, lw'alireeterako okuzikirira! Olunaku olwo nga lwa ntiisa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zitusanze olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.