Joel 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entontogolo z'emikunyu ziwotokedde mu mafunfugu, amawanika gaayabizibwa, ebyagi ne bimenyebwawo, kubanga eŋŋano eweddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensigo ziwotokedde mu ttaka, amawanika makalu n’ebyagi by’emmere bikaze, kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensigo zivunda okuva mu bikuta byazo, amawanika galekeddwawo, amaterekero goonooneddwa; kubanga eŋŋaano eweddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensigo zifiira mu ttaka ekkalu. Amawanika galekeddwawo, amaterekero goonoonese, kubanga tewakyali mmere ya mpeke eterekebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose.