Joel 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ggwe nkubira omulanga, kubanga omuliro gulidde amalundiro mu lukoola, n'oluyiira ne lwokya emiti gyonna mu ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira, kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira, n’emiti gyonna egy’omu nnimiro nagyo giyidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, ggwe nkaabirira; kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nkukaabirira ggwe, kubanga omuddo ogw'omu ttale n'emiti egy'omu nnimiro bikaze, biri ng'ebyokeddwa omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.