Joel 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde, muwulire kino, nammwe mwenna abasula mu nsi mutege amatu; ekiri nga kino kyali kiguddewo mu budde bwammwe, oba mu bbanga lya bajjajjammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri, buli ali mu nsi naye awulirize. Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe, oba mu biseera bya bakitammwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege amatu, mmwe mwenna abatuula mu nsi ya Yuda! Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe? Oba mu biro bya bajjajjammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire kino mmwe abakadde, mutege amatu mmwe mwenna abatuuze b'omu Buyudaaya. Kino kyali kibaddewo mu mirembe gyammwe? Oba mu mirembe gya bajjajjammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe?