Joel 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti eggwanga lizinze ensi yange, ery'amaanyi, eritabalika, lirina amannyo ng'ag'empologoma, amagego gaalyo ga mpologoma nkazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggwanga lirumbye ensi yange, ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma, n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ly'amaanyi, era omuwendo gwabwe tegubalika; amannyo gaalyo galinga ag'empologoma, n'amasongezo gaalyo galinga ag'empologoma enkazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggye ly'enzige lizinze ensi yange. Za maanyi era nnyingi nnyo tezibalika. Amannyo gaazo masongovu, era moogi ng'ag'empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu.