Joel 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitone by'obuwunga n'eby'okuyiwa bikutuddwako mu Kiggwa ky'Omukama; bakabona abaweereza b'Omukama bakaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama. Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda bakungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama. Bakabona bakungubaga, abaweereza ba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abaweereza ba Mukama bakungubaga, kubanga tewakyali mmere ya mpeke era n'ebyokunywa, ebiweebwayo mu Ssinzizo lya Mukama!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddiwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala.