Joel 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso gaazo ensi ekankana, n'eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bifuuka nzikiza, n'emmunyeenye ne zikomya okwaka kwazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zikankanya ensi era n’eggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba n’omwezi, era n’emmunyeenye tezikyayaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ekankana mu maaso gaazo, eggulu lijugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ekankana nga zisembera, eggulu lujugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettaka likankana mu maaso gaabwe; eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwaka kwazo: