Joel 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aduumira emabega w'eggye lye; eggye lye ddene nnyo; ba maanyi abatuukiriza by'agambye. Olunaku lw'Omukama lukulu, lwa ntiisa nnyo; ani alirugumira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akulembera eggye lye n’eddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ayogera n'eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye, kubanga eggye lye ddene era lya maanyi. Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulugumira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aduumira eggye lye. Ebibinja ebimuwulira bingi nnyo era bya maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu, era lwa ntiisa nnyo! Ani ayinza okulugumira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola?