Joel 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kaakati,” Omukama yagamba, “mukyukire gye ndi n'omutima gwammwe gwonna, nga musiiba, nga mukaaba n'okukuba ebiwoobe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna. Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era naye ne kaakano,” bw'ayogera Mukama, “munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Naye ne kaakano, mwenenyereze ddala, mudde gye ndi nga musiiba, nga mukaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala: