Joel 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi, oboolyawo yeddamu n'asonyiwa, n'aleka emabega omukisa gw'ebitone eby'obuwunga n'eby'okuyiwa olw'Omukama Katonda wammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa, n’abawa omukisa gwe ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa, n'abalekera omukisa, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunnywa eri Mukama Katonda wammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oboolyawo Mukama, Katonda wammwe, anaakyusa ekirowoozo kye n'abaddiramu, n'aleka ng'abawadde omukisa, ne mubaza ebibala, ne musobola okumutonera ebirabo eby'emmere ey'empeke n'ebyokunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe?