Joel 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukunge abantu, mutukuze olukuŋŋaana, mukuŋŋaanye abakadde, muleete wamu abato abakyayonka; omusajja awasizza aveeyo gy'asula, n'omugole aleke ekisenge kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato n’abo abakyali ku mabeere. N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka, omugole omusajja ave mu kisenge kye, n'omugole omukazi ave mu nju ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukuŋŋaanye abantu mulangirire olukuŋŋaana olutukuvu. Mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka. N'abagole abaakafumbiriganwa, bave mu bisenge byabwe bajje.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka amabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye.