Joel 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona, abaweereza b'Omukama, bawanjagire wakati w'ekisasi n'omwaliiro; bagambe nti: “Saasira abantu bo, ayi Mukama, obusika bwo tobuleka kusekererwa, kufuuka mboozi mu b'amawanga. Lwaki bandigambye eyo mu mawanga nti: ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti, “ Saasira abantu bo, ayi Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, n'amawanga okubafuga. Kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abaweereza Mukama bakaabe amaziga nga bali wakati w'omulyango gw'Essinzizo ne alutaari bagambe nti: “Saasira abantu bo, ayi Mukama! Totuleka kunyoomebwa na kusekererwa ba mawanga malala nga bagamba nti: ‘Katonda wammwe ali ludda wa?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa?