Joel 2:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olunaku olw'enzikiza ne kalenge, olunaku olw'ebire n'olufu; nga mmambya agenda abuna ku nsozi, eggye eddene ery'amaanyi lijja, ekiri ng'ekyo tekibangawo okuva edda n'edda, n'oluvannyuma lwakyo tekiribaawo mu mazadde n'amazadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza; olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte. Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo, ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, era olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte! Ng'ekizikiza ekikutte, lisaasanira ku nsozi, abantu abangi era abamaanyi; tewabangawo babafaanana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okuyita mu myaka emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luliba lunaku lwa kifu n'ekikome, era lwa bire n'ekizikiza ekikutte. Eggye eddene ery'enzige lijja, nga liri ng'ekizikiza ekibikka ensozi. Tewabangawo zizenkana bungi, era teziribaawo nate emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi.