Joel 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oyo ow'emambuka nzija kumubassa wala, nzija kumugobera mu nsi enkalu ey'eddungu, obwanga ng'abwolekezza ennyanja ey'ebuvanjuba, ekyensuti ng'akitunuulizza ennyanja ey'ebugwanjuba. Olusu lwe lulisituka, ekivundu kye kiryetikka.” Mazima akoze binene!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba, n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba. Ekivundu n’okuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ndibaggyako eggye ery'obukiikakkono ne nditwala wala, era ndibagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, mu maaso ge mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'emabega we mu nnyanja ey'ebugwanjuba; ekivundu n'okuwunya kwabwe okubi kulirinnya, kubanga bakoze ebikulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kubaggyako eggye ery'enzige eryava mu bukiikakkono. Ezimu nja kuzigobera mu ddungu: ebibinja ebikulembeddemu mbigobere mu Nnyanja Enfu. N'ebibinja ebisembayo emabega mbigobere mu Nnyanja Eyaawakati. Emirambo gyazo gijja kuwunya ekivundu. Nja kuzisaanyaawo olwa byonna bye zikoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so siribafuula nate ekivume mu mawanga: naye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne mbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaja ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya kwe kulirinnya, kubanga akoze bikulu.