Joel 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu ba Siyoni, musagambize, musanyukire mu Mukama Katonda wammwe, kubanga abawadde enkuba ya Ddumbi mu butuukirivu, atonnyesezza enkuba ku lwammwe, eya Ddumbi n'eya Ttoggo nga luli mu masooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo mu mwaka ng’obw’edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe; kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba eya ttoggo n'eya ddumbi, nga bwe yagibatonnyesezanga edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musanyuke mmwe abantu ba Siyooni, mujaguze olw'ebyo Mukama, Katonda wammwe by'abakoledde, kubanga abawa enkuba esooka mu kipimo ekituufu. Abatonnyeseza enkuba nnyingi: esooka n'eyo ejja oluvannyuma, nga bwe yagibatonnyesezanga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba eya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye.