Joel 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubaddizaawo olw'emyaka gye zaamala nga zirya: enzige enkulu ne lusejjera, amayanzi n'obucaaka; eggye lyange eddene lye nabasindikira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, n’enzige ezisala obusazi, awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibaddizawo emyaka gye mwafiirwa ne byonna enzige bye zalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye eddene lye n'asindika okubalumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaddizaawo bye mwafiirwa ebyaliibwa ebibinja by'enzige ez'eggye eddene, lye nasindika okubalumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye lyange eringi lye nnagaba okubatabaala.