Joel 2:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muliba n'ebyokulya bingi ne mukkuta; mulitendereza erinnya ly'Omukama Katonda wammwe eyabakolera ebikulu; abantu bange tebaliddayo kuswazibwa n'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde eby'ekitalo. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale munaafunanga ebyokulya bingi, munaalyanga ne mukkuta, ne mutendereza Mukama, Katonda wammwe, abakoledde ebyewuunyisa. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi ennaku zonna.