Joel 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulitegeera nti ndi mu Yisirayeli, nti nze Mukama Katonda wammwe, era teriiyo mulala; abantu bange tebaliddayo kuswazibwa n'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulimanya nga ndi wakati mu mmwe Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mmwe Abayisirayeli lwe mulimanya nga ndi wakati mu mmwe, era nga nze Mukama, Katonda wammwe, era tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.