Joel 2:28 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka oluvannyuma lw'ebyo ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oluvannyuma, ndigabira bonna mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. N'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto. Abavubuka bammwe balirabikirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa: