Joel 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso gaalyo omuliro gugenda gusenkenya, emabega waalyo oluyiira lujja lwaka. Gye zigenda ensi eri ng'ennimiro y'e Edeni, naye gye ziva eri ng'eddungu evvunjage; mpaawo kiziwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu, n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro gwokya mu maaso gaabwe, era emabega waabwe ennimi z'omuliro zaaka. Ensi eri ng'Olusuku lwa Adeni, oluli mu maaso gaabwe, naye emabega waabwe ddungu eryazika, era tewali kiwona ku zo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
We zirya ebimera waba ng'omuliro we gwokezza. Mu maaso gye ziraga, ensi eri ng'Ennimiro ya Edeni. Naye emabega gye ziva, lye ddungu ejjereere. Tezirina kye zitaliza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye.