Joel 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ndabika yaazo zifaanana embalaasi, ziguluka ng'eggye ly'abeebagazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zifaanana ng’embalaasi, era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enfaanana yaazo eringa ey'embalaasi, era ziddukanga ng'embalaasi bwe zidduka mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zifaanana ng'embalaasi, zidduka ng'embalaasi ez'omu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro: