Joel 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tezisindikagana, buli emu egoba kkubo lyayo. Ziwaguza mu busaale, teziyimirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu esimba n'etambulira mu kkubo lyayo, era ziwaguza awali eby'okulwanyisa, ne watabaawo aziziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu etambulira mu kkubo lyayo. Ziwaguza awali abakuumi ne watabaawo aziziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe.