Joel 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ziyiikira ekibuga, zisanjaala ku kisenge, zeefubitika amayumba nga ziyita mu madirisa ng'ababbi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zifubutuka ne zizinda ekibuga, zibuna bbugwe wa kyo, ziwalampa ne zituuka mu nnyumba, ziyingirira mu madirisa ng'omubbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zifubutuka ne zizinda ekibuga. Ziwalampa ebibuga ne zirinnya, ne zituuka ku nnyumba ne ziyingirira mu madirisa ng'ababbi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bbugwe; bawalampa ne batuuka mu nnyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbi.