Joel 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebyo nga biwedde, ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga; abakadde bammwe baliroota ebirooto, n'abavubuka bammwe balirabikirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo, Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndizzawo emikisa gya Yuda ne Yerusaalemi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo, ndizzaawo emikisa gya Buyudaaya ne Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi,