Joel 3:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu; omunafu agambe nti, “Ndi wa maanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. Omunafu ayogere nti, “Ndi mulwanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. N'omunafu agambe nti ‘Nja kulwana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi.