Joel 3:14 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluggube, oluggube, lw'abantu bali mu kiwonvu omw'okusalirawo! Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu omw'okusalirawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu enkumi n'enkumi bali mu kiwonvu eky'okusalirwamu omusango, kubanga eyo olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu.