Joel 3:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni; alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi. Eggulu n’ensi birikankana. Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be, era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama awuluguma ng'asinziira mu Sayuuni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemi, era eggulu n'ensi bikankana. Naye Mukama kiddukiro eri abantu be era ekigo eky'amaanyi eri abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama awulugumira mu Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu, eggulu n'ensi ne bikankana. Naye Mukama ye aliba ekiddukiro ky'abantu be, ekigo ekitaasa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri.

Recommended Reading