Joel 3:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu, nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemi kiriba kitukuvu, era tewaliba bannamawanga abalikiwangula nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale olwo mulimanya nga Nze Mukama, Katonda wammwe, abeera mu Siyooni, olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemu kiriba kibuga kitukuvu, tewaliba bagwira bakiwangula nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo mulimanya nga nze ndiMukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate.