Joel 3:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya, n’obusozi bulikulukusa amata, n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi. Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, ne lufukirira ekiwonvu Sittimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku ezo, ennimiro z'emizabbibu ziribikka ensozi, n'ente ez'amata ziriba ku buli kasozi. Amazzi galijjula mu bugga bwonna obw'omu Buyudaaya. N'ensulo y'amazzi erikulukuta okuva mu Ssinzizo lya Mukama, n'efukirira ekiwonvu Sittimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu.