Joel 3:19 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Misiri erifuuka amatongo n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda, ensi mwe battira abantu abatalina musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu eryalekebwawo, olw'obukambwe obwakolebwa ku bantu ab'omu Yuda, kubanga bayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu, kubanga abantu b'omu nsi ezo baalumba Buyudaaya, ne batta abantu baamu abatalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.