Joel 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaddu bammwe n'abazaana bammwe mu nnaku ezo ndibayiwako Mwoyo wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati, ne mbasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange. Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga, ne bagabana ensi yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosafaati, kale ndisinzira eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyiriza mu mawanga ne bagabana Isiraeri ensi yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna, ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yehosafaati, era nga bali eyo, ndibasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayeli, kubanga baabasaasaanya mu mawanga, ne bagabana Yisirayeli ensi yange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange.