Joel 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba erifuuka nzikiza, n'omwezi gulifuuka musaayi ng'olunaku lw'Omukama olukulu olw'entiisa terunnatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki kyemuli gyendi mmwe Ttuulo ne Sidoni n'ebitundu byonna ebya Abafirisuuti? Mulina ekintu kye musasulira? Bwe muba mulina kye munsasula, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwagala kunkola ki mmwe Tiiro ne Sidoni, n'ebitundu byonna ebya Filistiya? Mulina kye mwagala okunneesasuza? Bwe muba mwagala okunneesasuza, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe.