Joel 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli alikoowoola erinnya ly'Omukama aliwonyezebwa; kubanga ku lusozi Siyoni kwe kuliba abanunuddwa, era ne mu Yeruzaalemu, ng'Omukama bwe yagamba, mu abo abawonyeewo mwe muliba Omukama b'ayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, era ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi eby'omuwendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mututte ffeeza wange ne zaabu wange, era mututte mu masabo gammwe ebintu byange ebirungi era eby'omuwendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa;