Joel 3:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe eri abantu ba Yuda, nabo balibaguza abasajja ab'e Seba, eggwanga eriri ewala; kubanga Mukama ya kyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kuleka batabani bammwe ne bawala bammwe batundibwe mu bantu b'omu Buyudaaya, era nabo babatunde mu bantu b'e Seeba, eggwanga eriri ewala. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja b’e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde.