Joel 3:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti, Mwetegekere olutalo! Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi, buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo, muyite abasajja ab'amaanyi; abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo. Muyite abasajja ab'amaanyi, abaserikale bonna beesowoleyo bajje.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.