John 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono Yowanna yamujulira ng'ayogerera waggulu nti: “Ye wuuyo gwe nayogerako nti ajja emabega wange y'ansinga, kubanga ye yansooka okubaawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'amutegeeza ng'ayogerera waggulu nti, “Oyo gwe nnagamba nti ‘Ajja oluvannyuma lwange ansinga nze, kubanga ye yali wa lubereberye ku nze.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.