John 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ku musera gwe ffenna kwe twagabana, eneema ku neema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku kujjula kwe fenna twaweebwa, ekisa ekyeyongera ku kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa.