John 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuba Etteeka lyaweebwa mu Musa, naye eneema n'amazima byajjira mu Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amateeka gaaweebwa nga gayita mu Musa; ekisa n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.