John 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda mpaawo yali amulabye; Omwana omu yekka ate Katonda, ali ddala mu Taata, oyo ye yamumanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, abeera mu kifuba kya Kitaffe oyo ye yategeeza bwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.