John 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuno kwe kujulira kwa Yowanna kwe yajuliramu eri Abayudaaya bwe baatuma gy'ali bakabona n'Abaleevi okuva e Yeruzaalemu okumubuuza nti: “Ggwe ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buno bwe bujulirwa bwa Yokaana bwe yategeeza Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti, “Ggwe ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani?