John 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Nze ddoboozi ly'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Muluŋŋamye ekkubo ly'Omukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yagamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.