John 1:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye wuuyo gwe nayogerako nti emabega wange ejjayo eyansooka okubaawo, kubanga yabaawo nga nze sinnaba kubaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye wuuyo gwe nnayogerako nti, ‘Emabega wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.